Skip to content Skip to footer

Teri kwongezaayo kuwandiisa bantu- Minista

Aronda

Gavumenti ezzeemu okukikkatiriza nga bw’etagenda kwongezayo kwewandisa kwa bannayuganda okufuna endaga Muntu.

Gavumenti  yatandika okuwandiisa abantu, kyokka ng’enteekateeka eno ezze efuna ebizibu eby’enjawulo naddala ebyuuma okwononeka wamu n’abawandiisa okwekalakasa obutasasulwa.

Minisita akola ku nsonga ez’omunda mu ggwanga , Gen. Aronda Nyakayirima agambye nti tewali nteekateeka zonna, okwongezaayo okwewandiisa,wadde nga waliwo ebizibu ebisangiddwa.

Abantu abasoba mu bukadde 18 abali waggulu w’emyaka 16 beebasuubirwa okuwandikibwa.

Leave a comment

0.0/5