
Poliisi ezzeemu okukinogaanya nti tejja kukkiriza eyali ssabaminisita Amama Mbabazi okwebuuza ku bantu ku by’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Olwaleero bannamateeka ba Mbabazi nga bakulembeddwaamu Fred Muwema basiibye mu kafubo ne poliisi okubanyonyola tteeka ki lyebaba bamenye
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti bagaala bbaluwa ya NRM ekkiriza Mbabazi okwebuuza ku bantu n’ey’akakiiko akalondesa emukkiriza okutuuka mu bantu
Enanga agambye nti kibakakatako okwewala embeera eyinza okuvaako akavuyo nga y’ensonga lwaki tebajja kukkiriza Mbabazi
Mbabazi alina okubeera e Mbale ku lw’okuna okwebuuza ku bantu ku nsonga z’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga.
Mbabazi yaweze dda nti wakiri okubuuza ekimotoka kya poliisi, naye wakubeera e Mbale.