
Kkooti ejulirwamu egaanye okusazamu ekibonerezo ky’okutibwa ekyaweebwa Thomas Nkurungira amanyiddwa nga Tonku eyatta muganzi we omulambo n’agusuula mu kinya kyakazambi.
Omulambo gwa Brenda Karamuzi gwazulibwa abafuuyira ebiwuka nga 30th.Jan.2010 mu zooni ye Kijjwa e Bukasa- Muyenga .
Abalamuzi abasatu nga bakulembeddwamu Augustine Nshimye bakkiriziganyizza n’ebyasalibwawo omulamuzi wa kkooti enkulu Albert Rugadya Atwooki nti ddala obujulizi bulaga nga bweyatta muganzi we mu makage gyeyasemba okulabibwako.
Abalamuzi bategezezza nga Tonku okugamba aboluganda ba Karamuzi nti omugebnzi y’akoma okumulabako nga 22 Jan 2010 bwebaba bamunonya bagende mu ggwanika n’eneyisaye ey’obukambwe ddala bwebulaga nti y’alina omukono mu kutta muganzi we.
Abalamuzi era bagenze mu maaso nebategeeza nti omusaayi gw’omugenzi, obwongo ssaako obwasasana wamu n’enkumbi eyakozeebwa okumutta bwebimala okulumika Tonku kubanga n’omugenzi akawanga ke baasanga kamementuddwa.