Bya Benjamin Jumbe
Uganda eyanukudde gavumenti ya America, abayogedde ku kulonda kwa bonna okuwedde, nti tekwali kwamazima na bwenkanya.
America era eriko ekkoligo lya Visa lyeyatadde ku bakungu mu gavumenti bebalumiriza nti bebali emabega wemivuyo egyetobeka mu kulonda.
Sabawandiisi wa America, ku nkolagana namawanga amaala, Antony Blinken agambye nti abalondoozi bebyokulonda bangi babalemesebwa okulondoola okulonda kuno, era nebasaba gavumenti erongoose kungeri okulonda gyekutegekebwa.
Yavumiridde ebikolwa ebyefujjo, okulwanagana n’okutisatisa abalonzi.
Kati bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa gavumenti nga ye ssenkulu wa Uganda Media Centre Ofwono Opondo agambye nti America, balina ekkonda ku mutima kubanga abavauganya gavumenti bebaali bawagira tebayitamu.