
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ategezezza nga Uganda bwetasobola kukwata pulezidenti wa Sudan Omar El Bashir.
Bashir yayitiddwa okwetaba mu lukungaana lw’ebyenkulakulana wansi w’omukago gwa IGAD.
Museveni agamba bbo bakukuuma Bashir era yewunya eggwanga lya South Africa abaali baagala okumuwayo akwatibwe .
Bashir yetagibwa kkooti y’ensi yonna ku misango gy’okutyobola eddembe ly’obuntu
Bino Museveni y’abyogeredde mu nsisinkano gyeyabaddemu n’abakulembeze okuva mu mawanga ga East Africa okuli owa Kenya Uhuru Kenyatta n’abalala.