Bya Benjamin Jumbe,
Gavumenti ya Uganda egamba nti yakugenda mu maaso eggule eddagala lya eryekika kya Astrazeneca erigema ekirwadde kya covid-19.
Bino byogeddwa minisita owe byobulamu Dr Jane Ruth Aceng, nga wakayita olunaku lumu lyokka minisita avunanyizibwa ku guno na guli mu minisitule eye byobulamu, Robinah Nabanja okutegeeza nga minisitle bweyasazizaamu entekateeka eyokugula eddagala lino babereko bye beetegereza
Aceng abuulidde bannamawulire mu kampala nti gavt yakweyambisa eddagala lya Astrazeneca okugema bannauganda ekirwadde kya covid-19 era bakusooka kugula doozi ze ddagala 400,000 ku bukadde 18 gyebakolako ooda.
Ayongedde okutangaza nti Uganda yafunye na baddukirize ne bagigulira doozi endala 3M okuva mu covab facility era doozi 1.4M zakuttuka nga tetunamalako mwezi gwa kusatu
Bannauganda 39911 bebakakwatibwa ekirwadde kya covid ate 328 bebakava mu bulamu bwensi eno yakirwadde