By Damali Mukhaye.
Ekitongole ekikola ku by’enguudo ekya UNRA leero kitadde omukono ku ndagaano ne kampuni ezigenda okuzimba enguudo satu gagadde.
Enguudo ezigenda okukolebwako kuliko olwa Rukungiri-Kihihi-Ishasha, Masaka-Bukakata namataawo agenjawulo mu kampala.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Executive Director w’ekitongole kino Allen kagina agambye nti olugudo luno olwa Rukungiri-Ishasha lugenda kukolebwa aba China Henn international group , ku buwumbi 207 , nga luno lwakuggwa mu 2021.
Olwa Masaka-Bukakata lwakukolebwa aba Arab contaractor ku nsimbi 195 luggwe mu 2020 .
Songa kwo okuzimba amataawo kwakutandika mu January 2019 , nga gakolebwa aba Shimizu-Konoike ku buwumbi 61 Billion.
Wabula ono asabye abagenda okukola oluguudo lino okukola akalimo akayonjo, ate enguudo zonna ziggwe mubudde