Bya Moses Kyeyune
Eyali omulondoozi wemirimu gya banka ezerbyobusubuzi mu banka ya Uganda enkulu Justine Bagyenda akyasubirwa okulabikako eri akakiiko ka palamenti akasunsula abwereddwa emirimu.
Akakiiko kano nga kakubirizibwa Speaker Rebecca Kadaga kabaddi kakusunsula Bagyebda ku ssaawa 5 nedakiika nga 40 ku mulimu omupya ogwamuweebwa, okutuula ku kitongole kya Financial Intelligence Authority, ekirondoola ebyensimbi nokunonyererza ku nsimbi ezitali mu makubo matuufu, wabula natalabikako.
Bagyenda yalondebwa ku kitongole kino, atenga kyekimu ekinonyererza ku vvulugu, eyali mu banka enkulu, gyagambibwa nti yamwetobekamu.