KKampuni y’empuliziganya eya Uganda Telecom yeetaga obuwumbi 65 okudda engulu oba ssi kkyo mu nnaku nkaaga ejja kuba eggaddewo
Kkampuni eno nga Uganda egirinamu omugabo ne Libya ezze egwa era nga kati amabanja g’erina tegakyasobola kukola mirimu
Akulira olukiiko olutwala kkampuni eno Steven Kaboyo ategeezezza ababaka mu palamenti ategeezezza nti tewakyaali kunaanya kkampuni eno egenda era nga keekadde gavumenti etaase
Ono agambye nti gavumenti yadde erina emigabo mu kkampuni eno tetuukirizza mulimu gwaayo era nga nayo bagibanja obuwumbi 7 zebazze bakozesa mu bitongole byaayo
Kaboyo agambye nti mu kadde kano basigazza ba kasitoma akakadde kamu kokka nga bano tebakyasobola kuleeta magoba gamala