
Bya Damali Mukhaye,
Alipoota efulumiziddwa eyolese nti abayizi 56% abaafuna ebisomesebwa ebyagabwa gavumenti mu kiseera kyomuggalo tebabitegeera
Bwabadde ayanja ebyavudde mu kunonyereza kuno, Dr Paul Kitooke, omunonyereza okuva ku ttendekero e Kyambogo, agambye nti abayizi 44% bebokka abategeera waaka eyabaweebwa okwesomesa nga bali eka.
Ono anyonyodde nti olulimi lwe bakozesa okuwandiika waaka ono lwali luzibu ekyavirako abayizi okusobelwa ate nga tebayina basomesa babagondezaamu
Alipoota era eraze nti abayizi 37.5% waako tebamulabako songa abalala 11.8% tebakiwulirangako nti gavt yalina waak gwe yabasindikira besomesemu ewaka
Kitooke era yemulugunyiza ku mutindo gwe bisomesebwa bino nti gwali gwa wansi nyo kino akitadde ku kya gavt obutakwatagana na basomesa bwe baali bategeka waaka ono
Okunonyereza kuno kwakoleddwa aba Makerere University mu disitulikiti okuli Kampala, Masaka, Mubende, Jinja, ne Lira, abayizi, abasomesa na bazadde 476 bebebuzidwako