Bya Ivan Ssenabulya,
Eyesimbyewo okuvuganya kubwa pulezidenti, omusumba Joseph Kabuleta kampeyini zimusinye lwa nsimbi empitirivu zolina okuba nazo okunonya akalulu
Ono agamba nti engeri gye kiri nti okusinga balina kunonya kalulu mu nkola eya sayansi, abesimbyewo betaaga ensimbi mpitirivu okusasulira emikutu gya mawulire nókuyimirizawo tiimu gyebakola nayo
Akakiiko ke byokulonda kasalawo okulonda kwomulundi guno okubeera okwa sayansi oluvanyuma lwokubalukawo kwekirwadde kya covid-19 mu ggwanga