Waliwo liita za waragi eziri eyo mu 1300 bangi gwebakazaako erya Dete mu disitulikiti ya Agago gwebakumyeko omuliro.
Waragi ayiisibwa abatuuze n’owomubuveera yawerebwa mu kitundu kino kubanga wabulabe.
Waragi ono akwatiddwa mu katawuni ke Patongo nga era omubaka wa pulezidenti mu kitundu kino Charles Ray Okwir agamba bakoze kino okuteeka mu nkola eyasalibwawo olukiiko lwa disitulikiti okuwera waragi w’ekika kino.
Omu ku batunda n’okugula waragi ono mu disitulikiti atayagadde kwatukirizibwa manya ategezezza nga buli kidomola kya waragi ono bwekigula emitwalo 5 nga kale bafiiriddwa obukadde nga 20.
Ye omu ku batuuze mu kitundu kino Matilda Acala agamba okusaanyawo waragi ono kirungi ddala kubanga kyakubataasa ku bawaddanga abatuntuza bakyala baabwe.