Skip to content Skip to footer

Warid yakusasula Obsessions

Obsessions

Kkooti eragidde kkampuni ya Warid okusasula ab’ekibinja ky’abazinyi n’abayimbi ekya obsessions

Bano bakuweebwa obukadde 60 olwa warid okukozesa enyimba zaabwe nga tebafunye lukusa

Akulira kkooti ekola ku byobusuubuzi David Wangutusi agambye nti Warid yamenye amateeka ku biyiiye liyite Copyright bweyakozesa enyimba za Obsessions ttaano namba nga tebasabye mu mwaka gwa 2008

Warid kati eyagulwa Airtel era yakusasula ensimbi zonna aba Obsessions zebakozesezza mu kutambuza omusango guno.

Leave a comment

0.0/5