Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Ababaka bagala tteeka eribonereza abeesenza mu Ntobazi

Bya Author Wadero ne Prossy Kisakye, Ababaka ku kakiiko ka Palamenti akakola ku nkyukakyuka y’obudde bali mu kutegeka etteeka erigenda okubonereza abaserikale ba gavumenti abagaba obutereevu olukusa lw’okukola emirimu mu ntobazi. Ababaka beeraliikirivu olwempisa eya bakungu ba gavt okuwa pamiti abantu buli lukedde ezibakkiriza okwesenza mu ntobazi ekivirideko enkyukakyuka mu mbera yobudde. Kino kijjidde mu kiseera nga govt…

Read More

Ssabawandiisi wa UN akungubagidde Nnabakyala wa Bungereza

Bya Prossy Kisakye, Obubaka obwókukungubaga bukyagenda mu maaso okuyiika oluvannyuma lwa Nnabagereka wa bungereza Elizabeth 11 okufa. Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte António Guterres alaze ennaku ey’amaanyi olw’okufa kwa Kkwiini Elizabeth II. Mu kiwandiiko kyafulumiza agamba nti omukulembeze wa Bungereza akyasinze okuwangaalira ku nnamulondo, Nnabagereka asiimibwa nnyo olw’ekisa kye, ekitiibwa kye, n’okwewaayo kwabadde alina ku lwensi yonna. Guterres ayongerako nti…

Read More

Obuganda bukungubagidde Nnabakyala wa Bungereza

Bya Mike Sebalu, Obwa Kabaka bwa Buganda bukungubagidde abadde Nabakyaala wa Bungereza Elizabeth II, eyaseeredde akawungeezi k’olunaku lwa ggyo ku gy’obukulu 96. Mukwogerako eri Obuganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu Bulange e Mengo nategeeza nga Nabakyaala bweyategeera obuvunanyizibwa obugendera mu kifo ky’abaddemu era afubye nnyo obutuukiriza. Nnabakyala Elizabeth 11 , ye mukulembeze akyasinze okulwa ku nnamulondo, aludde…

Read More

Sipiika Among agamba nti waliwo abagala okumutta

Bya Benjamin Jumbe, Sipiika wa palamenti Anita Among abuulidde ababaka nga obulamu bwebuli mu matiga, nga waliwo abagala okumutta. Among agamba nti azze afuna okutiisibwatiisibwa okuttibwa. Wabula agamba nti tajja kuva ku mulamwa era agenda kwongera okuweereza eggwanga Mungeri yeemu Ssabaminita Robinah Nabbanja mu kumwanukula ku nsonga eno agambye nti gavumenti egenda kunoonyereza ku nsonga eno mu bujjuvu ate…

Read More

Embeera ya Nnabakyala wa Bungereza yeeralikiriza

Bya BCC Ab’oluganda lwa Nnabakyala wa bungereza queen Elizabeth bayitibwa bukubirire okumubeera ku lusegere oluvanyuma lwa basawo abamujanjaba okutegeeza nti embeera myali eyungula eziga. Nnabakyala Elizabeth nga aweza egyobukulu 96, ye mukulembeze akyasinze okulwa ku nnamulondo, aludde nga mukosefukosefu mu lubiri lwe e Buckingham okuva ku nkomerero y'omwaka oguwedde. Okuva mu gwe 10 omwaka oguwedde, Nnabakyala Elizabeth abadde…

Read More

UAE esonyiye bannauganda abagendayo mu bukyamu-yakubaza ku bweerere

Bya Prossy Kisakye, Gavumenti ya United Arab Emirates (UAE) esonyiye bannauganda bankuba kyeyo ababadde mu ggwanga eryo mu bukyamu era egenda kuyambako mu kubakomyawo. Bino byogeddwa minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’embeera z’abantu, Betty Amongi bwabadde ayogera eri bannamawulire mu Kampala kunsonga za bannauganda ababonabonera ku mawanga. Amongi agamba gavumenti egezezzaako okulondoola ensonga ya bakozi ababonabonera mu mawanga ga…

Read More

Aba- safe Boda batongoze safe-car

Bya Juliet Nalwooga, SafeBoda-Uganda kampuni ekola ku by’okuvuga Bodaboda etongozza appu ya Safe-Car ng'eno etambuliza abasabaze mu mmotoka. Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Ricky Rapa Thomson, omutandisi wa kampuni eno, agamba nti SafeCar kati y'enkola enganyu eri abatambuze. Agamba nti nobwoba tolina sente mu buliwo ogitumya nosasulira ku simu era agumizza abantu obukuumi n’okwekuuma. Kampuni ya SafeBoda erimu abavuzi…

Read More

Sipiika alemeddeko ku byékivvulu kya NyegeNyege

Bya Benjamin Jumbe, Sipiika wa palamenti Anita Among agamba nti palamenti tegenda kwekyusa okuva kukusalawo kwayo ku kivvulu kya Nyegenyege ekigenda okubeera e jinja mu ssabiiti ejja. Ono okwogera bino nga enkya ya leero Ssaabaminisita Robinah Nabanja ytevumbye akafubo na bakulu kunsonga eno Palamenti Lwokubiri yayimiriza ekivvulu kino ngegamba nti kitumbula ebikolwa ebyobusegu mu ggwanga kyokka gavumenti ng’eyita…

Read More

Abasuubuzi e Lyantodde bavudde mu mbeera

Bya Gertrude Mutyaba, Abasuubuzi abakakkalabiza emilimu mu katale e Lyantonde beekumyemu ogutaaka nga bawakanya engeri abakulembeze ba Lyantonde Town Council gyebaagala okubagobaganya mu katale nga balumiriza nti baandiba akatale baakatunda. Abasuubuzi bagamba nti abakulembeze ate abaandibalwaniridde ate bebabagobaganya nga mu kiseera kino batubidde n’amabanja ga banka nebasaba gavumenti ebayambe. Ssentebe w’akatale kano John Balaza agamba nti waliwo abasuubuzi…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play