Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Omukazi atuze abaana be 2 naye neyetuga

Bya Juliet Nalwooga Poliisi mu disitulikiti ye Kayunga enonyereza kungeri omukazi owemyaka 34 gyeyaseemu abaana be 2, oluvanyuma naye neyetuga. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto agambye nti omugenzi ye Sylivia Nakato nga yasoose kokya bintu byamu nnyumba olwobutakanya bwabadde nabwo ne bbaawe. Bino byabadde ku kyalo Bwetyaba e Bukoloto mu Kayunga. Ku baana beyatuze ku…

Read More

Abantu 2 bebatiddwa e Bukedea ne Kalaki ku ssekukulu

Bya Musasi Waffe Poliisi etandise okunonyereza kungeri abantu 2 gyebatiddwamu ku ssekukulu e Bukedea ne Kalaki. Omwogezi wa poliisi mu East Kyoga Oscar Ageca agambye nti obutemu buno bwabadde bwanjawulo, wabulanga bwabaddewo ku lunnaku lwerumu. Waliwo omuntu omu gwebatemyetemye nebamutta, atenga omulala yabadde mwana owemyaka 16 ngono yakubiddwa okutuuka okumutta mu nkyana z'omuwala. Aaron Oyugi oweabamusse babadde bamuneya, okubba…

Read More

Omutabani asse kitaawe nga bakayanira omukazi

Bya Abubaker Kirunda Mu disitulikiti ye Namutumba, omutabani yakakanye ku kitaawe namufumita ebiso namutta mu nkyana zomukwano ne muka kitaawe. Kigambibwa nti abatuuze basanze omutabani mu nsiko ne muka kitaawe, nebayita taata enkayana wezatandikidde. Bino byabaddewo ku lunnaku lwa ssekukulu, ku kyalo Namatooke mu gombolola ye Nangonde e Namutumba. Omuwandiisi ku bukulembeze bwekyalo Musa Makajja agambye nti taata abadde nabakazi…

Read More

Ebikujjuko bya ssekukulu mu Kampala South byabadde byamirembe

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi mu kitundu kya Kampala South benyumiriza, nti ebikujjuko bya ssekukulu byabadde byamirembe, okutwaliza awamu. Omuddumizi wa poliisi mu kitundu kino Godfrey Achiria agambye nti baafunye akabenje kamu akafiriddemu omuntu e Kajansi obulala tebwabadde bwamaanyi. Ekitundu kya Kampala Metropolitan South, kirimu divizoni 6 okuli; CPS, Kabalagala, Katwe, Kajansi, Entebbe ne Nsangi.

Read More

Abantu 58 baafiridde mu bubenje ku ssekukulu ne poliisi eweze Fire-Wax

Bya Juliet Nalwooga Poliisi etegezezza ngabantu abagoba mu 60 bwebafiridde mu bubenje obwenjawulo, mu nnaku enkulu, wakati wanga 23 ne 26 Decemba. Omwogezi wa poliisi yebidduka Faridah Nampiima abadde ku kitebbe kya poliisi e Naguru, naanyonyola bannamauwlire ebibalo bino. Agambye nti awamu obubenje 195 bwebwaguddeeo, ngamakumi 50 bwabadde ddekabusa, obubenje 90 bwabadde bukambwe nnyo atenga 51 bwabadde butonotono. Ku…

Read More

Abasajja basse bakazi baabwe ku Ssekukulu e Bugisu

Bya Ivan Ssenabulya Ekitebbe kya poliisi e Mbale baliko omusajja owemyaka 28 gwebagalidde ku misango gyokutemula mukyla we. Omukwate ye Lokiru Mariko, ng mutuuze we Namatala mu Industrial division, kigambibwa yasse mukyala we Mary Longole owemyaka 24 bweyamusanze nga yergomba nomusajja omulala munda mu nnyumba ye. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika, agambye nti bino…

Read More

Abe Sheema balajanidde gavumenti kunjala ebaluma

Bya Benjamin Jumbe Gavumenti esomozeddwa, okutekamu amaanyi okwetegekeranga ebibamba nokukkaasa nti egwanga libeera nemmere emala. Ebintundu bingi okwetoloola egwanga, wetwogerera nga bali mu kutya olwenjala ebolekedde. Kino kidiridde obutyabaga obubaddewo gyebuvuddeko okuli amataba nembuya ebyakuba ennimiro zabantu. Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Sheema, Rosemary Nyakikongoro agambye nti ekitundu kye, kyekimu ku byasinga okukosebwa. Agabye nti abamu wetwogerera enjla yabatandiseeko dda,…

Read More

Mufeeyo okumanya enkyukakyuka mubyentambula-UCAA

Bya Juliet Nalwooga Ekitongole kyentambula yomubbanga, Uganda Civil Aviation Authority bawabudde abatambuze okusigala nga bekumira mu kumanya, ku nnambika yebyentambula nga tebanatambula. Wabaddewo entambula ze nnyonyi ezasaziddwmu, mugandaalo erya ssabiiti, olwakawuka ka Omicron nga kyagotanyizza abantu bangi. Okusunziira ku bibalo okuva ku mukutu gwa FlightAware data, entambula ze nnyonyi 5,900 zezasaziddwamu ku ssekukulu. Omwogezi wekitongole Vianney Luggya agambye nti…

Read More

South Africa yakukungubagira Tutu okumala wiiki

Egwanga lya South Africa ligenda kukungubaga okumala wiiki nnamba, okujjukira Ssabalabirizi Desmond Tutu, eyafudde olunnaku lweggulo ku myaka 90. Ono ajjukirwa nnyo, yoomu ku baali ku mwanjo okulwnayisa obusosoze, nokubukomya mu gwanga lino. Bingi ebigenda okukolebwa mu bbanga lino, ebinakulemberamu okuziika nga 1 January mu kibuga Cape Town. Obubaka bukyayiika nga mazzi, okuva mu bakulembeze abanjewulo nga bakungubagira…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play