Bya Ivan Ssenabulya ne Gertrude Mutyaba
Omusumba wessaza lye Masaka Serverus Jjumba akunze abakulisitu okwongera okwambala mask zaabwe.
Buno bwebwabadde obubaka bwe ku Ssaza Parish e Masaka, bweyabadde akulembeddemu okusaba olunnaku lweggulo.
Kati mu kusaba okwasoose, nga bakaggulawo amasinzizo, baajaguzza omujulizi Bruno Sserunkuuma nga kino kikolebwa buli Sunday esembayo mu mezi gwomwenda.
Bishop Jumba alabudde ku kabi akali mu…
Bya Musasi Waffe
Munnamateeka wabantu abakosebw aolutalo mu bitundu bye Teso awandikidde gavumenti, omukuku gwebbaluwa ngawkanya olukalala lwabantu olwafulumye, abagambibwa nti bebakosebwa.
Bano bagamba nti kwabadde kukontana ne kooti ekiragiro kyeyayisa nga 17 Sebutemba 2021 nga yalagira nti waberewo okwkennenya olukalala lwabantu emitwalo 3 mu 3,664 abakosebwa olutalo mu kitundu kino era batandike okubaliyirrira mu Okitobba.
Richard Anguria…
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti eyongedde okweyama nti bagenda kuluma nogwengulu, okulwanyisa obulwadde bwa rabies bugwerwo ddala, omwaka 2030 wegunatukira.
Akulira emirimu gyokulwanyisa obulwadde buno mu minisitule yebyobulimi, obuvubi nobulunzi Dr Flavia Nakanjako agambye nti baliko entekateeka nnyingi zebatandiseeko okulwanyisa ekizbu kino.
Agambye nti mu myaka 2 ejiyise obulwadde bwa rabies bubadde buekendedde mu Uganda, nga kino akitadde ku…
Bya Ndhaye Moses
Umeme egamba nti etadde emitwalo gya $ 20 0nga bwebukadde bwa silingi 705 mu ntekateeka zokwongera ku bungi bwamasanyalaze mu kitundu kya Tooro.
Akulira ekitongole kino Selestino Babungi agambye nti bagenda kudabiriza eesundiro lyamasanyalaze mu kitundu kino kubanga waliwo obwetaavu.
Ekitundu kino kitunuliirwa ngekifo kyebyobulambuzi ekikulembera ebirala mu gwanga lyonna.
Agambye nti ekibuga Fort Portal, kati…
Bya Abubaker Kirunda
Abakulembeze mu ttunduttundu lya Busoga baliko olukiiko lwebatonzeewo olugenda okutembeeta emirimu gyenkulakulana.
Olukiiiko luno balutuumuye ‘Busoga consotium’ nga kugenda kutulako ba ssentebbe bazi disitulikiti, ababaka ba palamenti nabakulembeze abalala mu disitulikiti 12 ezikola Busoga.
Ronald Sanya nga ye ssentebbe wa disitulikiti ye Namayingo yalondedwa nga ssentebbe, agenda kumyukibwa ssentebbe owa distulikiti ye Luuka Simon Wakazze.
Anthony…
Bya Ivan Ssenabulya
Ssentebe wa NRM mu disitulikiti ye Mukono Twahiri Ssebaggala asabye gavumenti nti ekole ku nsonga eziruma abantu.
Ayogedde ku kugobaganya abantu ku ttaka nebiralala ebiruma abantu mu Buganda, nti bikolebweko bwekitaabe ekyo ekibiina kigenda kwongera okunafuwa.
Kinajjukirwa nti NRM teyakola bulungi mu kulonda kwa bonna okuwedde.
Sound: Twahir Okulabula
Bino byabadde ku mukolo e Mukono, Nampala wa…
Bya Juliet Nalwooga
Okunonyereza okwakoleddwa ku mutendera gwensi yonna, kulaze nti abobuyinza mu mawanga mangi bongedde okuleeta amateeka amakakali ku nkozesa ya yintaneti.
Baatunuliidde engeri gavumenti gyezirondola emikutu muyunga bantu nokukuba abantu ku nsolobotto.
Alipoota gyebatuumu Freedom on the Net 2021, yafulumye oluvanyuma lwokunonyereza okwakoleddwa aba Freedom House, banakyewa abatakabanira eddembe lyobuntu nadala eri abako zesa yintaneti.
Okunonyereza kwakolebwa…
Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti esabiddwa okubaga etteeka erinakumanga abajulizi nabantu abatulugunyiziddwa, oba witness protection law.
Omulanga guno gukubiddwa banakyewa abatakabanira eddembe lyobuntu, era bagamba nti linaaba buwanguzi obutukiddwako mu kukukuuma eddembe lyobuntu.
Akulira ekitongole kya African Centre for Treatment and Rehabilitation of Torture Victims nga ye Samuel Nsubuga agambye nti abantu bangi bebajanjabye nokubudabuda oluvanyuma lwokutulugunyizibwa, naye basalawo…
Bya Ivan Ssenabulya,
Eggwanga lya America litadde gavumenti ya wano kunninga okufulumya alipoota ekwata ku bikolwa ebyokutyoboola eddembe lyobuntu nókutta abantu ebyeyolekera mu kalulu akaaliwo kuntandikwa y’omwaka guno.
Abantu abasoba mu 50 bebalusulamu akaba mu kwekalakaasa okwaliwo mu mwezi gwa musenene omwaka oguwedde, abawagizi ba senkagale wekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi, bwebava mu mbeera ne begugunga nga…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa kwa Paul Nsubuga ngómubaka wa busiro North mu palamenti.
Kino kidiridde omulamuzi Winfred Nabisinde okugoba omusango ogwaloopwa munne bwebavuganya Edger Lubade, eyawakanya obuwanguzi bwa Nsubuga newankubadde yeyasiba ekira mu byava mu kulonda.
Omulamuzi Nabisinde agobye omusango guno oluvanyuma lwokutegeeza nti Lubade lemereddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti omubaka Nsubuga teyawangula…
