Bya Ivan Ssenabulya,
Omukulembeze wegwanga asimbudde abaddusi abagenda okukikirira Uganda mu mpaka za Olympic ezigenda okuyindira mu ggwanga lya Japan
Bano abakuutidde okubeera ne mpisa nga batuuseeyo.
Bwabadde asimbula abaddusi bano ku kisaawe e Kololo mu Kampala, Museveni mungeri yemu abakuutidde okufaayo enyo ku bulamu bwabwe mu kiseera kino nga amawanga galwanagana ne kirwadde kya covid-19
Empaka za Olympics…
Bya Prossy Kisakye
Ababaka ba palamenti nábakulembeze bómu kampala, balaze obwenyamivu olwa gavumenti obutafaayo kuteeka ensimbi mu mirimu gyokulwanyisa ekirwadde kya covid-19
Bano nga bakulembedwamu loodi meeya wa kampala Erias Lukwago ne minisita owekisikirize avunanyizibwa kunsonga za kampala era nga ye mubaka wa Lubaga north mu palamenti Abubaker Kawalya leero basisinkanye akulira oludda oluvuganya gavt mu pamenti…
Bya Sadat Mbogo
Poliisi y'e Buwama mu disitulikiti 'e Mpigi etandise okunonyereza ku nfa y'omusajja agambibwa nti yafudde oluvanyuma lw'okwenyigira mu mpaka z'okunywa waragi ayitibwa Twebeereremu.
Omugenzi ategeerekese nga ye Farouk Muwonge abadde aweza emyaka 33, omusuubuzi wa scrap mu Buwama A mu tawuni kanso ye Buwama.
Kigambibwa nti bino byabaddewo akawungeezi akayise, ng'ali ne munne Bosco n'abalala,…
Bya Musasai waffe
Poliisi mu disitulikiti ye Nwoya ebakanye nomuyiggo ku musajja owemyaka 24, agambibwa nti yakidde kitaawe namautta olwokulangira nga bwatalina maanyi gakisajja.
Ono kitaawe abaddenga amulemeddeko, afune omukazi aowene obwomu, nayenga teyeneenya.
Boniface Labanya, nga mutuuze ku kyalo Pakiya mu gombolola ye Lii kigambibwa nti yasambye taata we owemyaka 50 Richard Oneka mu lubuto naafa.
Atwala poliisi…
Bya Ivan Ssenabulya
Minisitule yebyobulamu eriko abalwadde ba ssneyiga omukambwe abappya befunye 559 nabantu 29 abaafudde, ng’ebibalo bino byavudde mu kwekebejja okwakoleddwa nga 7 July 2021.
Kati ebibalo ebyawamu, biraga nti Uganda erina abalwadde emitwalo 8 mu 6,140 nabakafa awamu 2,062.
Ebibalo era ebivudde mu minisitule biraga nti emitwalo 5 mu 9,495 bebakawona, atenga wetwogerera abalwadde basigadde 996…
Bya Prosy Kisakye
Gavumenti yetaaga obuwumbi 70 okuzimba ekkolero erinakola eddagala, erigema ssenyiga omukambwe.
Kino kyabikuddwa minisita webyensimbi Matia Kasaija bweyabadde yeyanjudde eri akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gya gavumenti, egyokulwanyisa ssenyiga omukambwe.
Ababaka ku kakiiko kano akakaubirizibwa omubaka we Bugweri, Abdul Katuntu batadde Kasaija ku nninga okunyonyola lwaki, gavumenti esasanya obulindonobulindo bwensimbi mu bintu ebitagasa.
Ssentebbe wakakiiko omubaka Abdul…
Bya Gertrude Mutyaba
Ba neekolera gyange mu disitilikiti ye Lyantonde bawanjagidde omukulembeze we’gwanga abayambeko ku b'ebyokwerinda abasusse okubaliisa akakanja.
Bagamba nti babakuba emiggo n'okubasobyako mu budde obwa bwekiro.
Abamu ku bakyala bano bagamba nti abaserikale babakwata ku mpaka kyokka nebabanyagako n'ensimbi zaabwe.
Wabula omuddumizi wa poliisi e Lyantonde Namara Keren alaze okutya nti wandibaawo abantu abatandise okwerimbika mu beby'okwerinda…
Bya Prosy Kisakye
Poliisi mu disitulikiti ye Iganga eriko omusajja gwekutte owemyaka 25, olwokutyoboola obutonde bwomukyala.
Omukate ye Mwesigwa Aloysius nga mutuuze we Nkatu Proper, mu Northern division e Iganga.
Ono yakkira omukayla namukuba ebifananyi nganaaba.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi bekebejezza essimu yomusajja ono era nebasangamu ebifananyti nobutambi bwabakazi abali obukunya.
Bya Abubaker Kirunda
Omusajja owemyaka 50 akwatiddwa poliisi e Iganga ku misango gyokusobya ku muala owe owemyaka 9.
Okusinziira ku musasai waffe Abubaker Kirunda, omukwate mutuuze ku kyalo Namundodi B mu gombolola ye Nakalama e Iganga.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino James Mubi agambye nti omwana abadde abeera ne jajja we, wabula kitaawe yalabye nnyina nga taliiwo kwekusobya…
Bya Rita Kemigisa
Omukulembeze weggwanga YK Museveni ayanukudde ababadde babungeesa engambo ku mikutu egyómutimbagano nti yafa.
Mu nnaku zino amawulire ku mikutu gyomutimbagano gabadde galaga nga pulezidenti museveni bwali omulwadde enyo oba nokuba nga yafa dda
Wabula bwabadde ku mukolo ogwokulayiza ba minisitabe abalala ku kisawe e Kololo, Museveni abatambuza amawulire gokufakwe abayise basirusiru era balina okukwatibwa.
Kati alagidde…
