Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ivan Ssenabulya issenabulya

Poliisi etangaziza ku butya bwegenda okuteekesa ebiragiro bya pulezidenti munkola

Bya Juliet Nalwooga, Poliisi evudeyo netangaza ku butya bwegenda okuteekesa ekiragiro kyomukulembeze weggwanga ekitangira emotoka obutasala kugenda mu disitulikiti ndala. Mu kwogerako eri eggwanga pulezidenti Museveni yategezeza nti okutandika ngennaku zomwezi 10th June 2021, tebagenda kudamu kukkiriza ebidduka okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala okumala ennaku 42 lwa kirwadde Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala,…

Read More

E kanisa ya uganda yakuyambako Gavt mu kulwanyisa covid

Bya Prossy Kisakye Ssabalabirizi wékanisa ya Uganda Dr Steven Kazimba Mugalu, agamba nti ekanisa neetegefu okuyambako gavumenti okuteeka munkola ebiragiro ebijja ebyayisiddwa okulwanyisa ekirwadde kya covid-19. Olunaku lweggulo omukulembeze weggwanga yayimiriza okusaba mu bifo ebyolukale ne mu makanisa ne mizikiti okumala ennaku 42 mu kawefube owokulwanyisa ekirwadde ekyongedde okusensera mu bannauganda. Mu kwogerako ne bannamawulire nga asinzira…

Read More

Aba DP baanukudde Museveni kuby’enfuna

Bya Prossy Kisakye Ab’oludda oluvuganya gavumenti aba DP banukudde ku bigambo byomukulembeze we’gwanga nti ebyenfuna bigudde lwakirwadde kya ssenyiga omukambwe. Mu kwogera kwe erei egwanga ku lunnaku Lwokutaano wiiki ewedde Museveni yategeeza nga COVID-19 bweyagotaanya ebyenfuna. Ebyanfuna byalina okukul ku 6.3% mu mwaka gwebyenfuna 2019/20 nebitundu 6.2% mu 2020/21 wabula tekyasoboka, byakulira ku 3% ssi nga bwebaali basubidde. Kati…

Read More

Museveni agadde Amasomero nawa n’ebiragiro ebirala

Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni mu kawefube w’okutangira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe ekiranda ngoluyiira aliko ebiragiro ebippya byalanagiridde. Bino webijidde ng’emiwendo gyabalwadde nabafa gigenze egirinnya buli lunnaku olukedde. Ku lunnaku lwa Sunday abalwadde abappya 1,200 bebafunise ngabasinga ku bano bavubuka. Kino omukulembeze we’gwanga akinyezza ku bannaUganda abalagajjala, ebyogoberera amateeka nebiragiro ku bulwadde nebabivaako. Mu kwogera kwe olunnaku…

Read More

Kkooti ewozesa abalya eggaddwa lwa kirwadde kya Covid

Bya Ruth Anderah, Kkooti ewozesa abalye eya Anti-Corruption Court eggaddwa okumala ssabiiti 2 oluvanyuma lwókuzuula abakozi batano nga balina ekirwadde kya covid-19. Okusinzira ku mwogezi wessiga eddamuzi, Jamson Kalemani, ku balwadde kuliko omulamuzi, omuwandiisi wa kkooti, dereeva, offiisa, nakola mu layibulale.Kalemani agamba nti basazeeewo okuggala kkooti eno okwewala obulwadde okusasaana nókusobozesa abalina okufuyira ekifo kyonna okukikola obulungi. Emisango…

Read More

Gavt eweereddwa amagezi kungeri yókulwanyisamu covid

Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti eweereddwa amagezi kungeri yokulwanyisamu ekirwadde kya senyiga omukambwe. Kino kidiridde omuwendo gwa bakwatibwa ekirwadde okweyongera wakati ngeggwanga lirwanagana nomuyaga ogwokubiri ogwekirwadde kino. Okunonyereza okwakoleddwa aba Afro Barometer bauuganda 8-10 balina endowooza nti ensimbi ezaali ezokulwanyisa ekirwadde kya covid zabbibbwa abakulu mu gavt. Okusinzira ku mukwanaganya wemirimu kye kibiina kino Francis Kibirige, bannauganda obutaba na bwesige…

Read More

Museveni alagidde poliisi okudamu okweyambisa Leediyo Koolo

Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze weggwanga YK Museveni alagidde abasirikale ba poliisi okukomya mbagirawo okukozesa amasimu gaabwe agómungalo nga bali ku mirimu badamu okukozesa ebisimu byémirimu ebyabaweebwa ebya radio call. Kino kidiridde obutemu obwakoledwa ku Gen Katumba Wamala obwavirideko okufa kwa muwalawe ne derevawe. Bino abyogedde ayogerako eri eggwanga mu kwogerakwe okusoose mu butongole ngomukulembeze weggwanga omugya. Museveni agambye nti…

Read More

Abatunzi bényama e Ibanda bibawedeko

Bya Prossy Kisakye, Abatunzi bényama mu disitulikiti eyé Ibanda gebakaaba ge bakomba oluvanyuma lwekiragiro okuyisibwa ekibagaana okudamu okutambuza nókutunda enyama olwekirwadde kya kalusu ekyeyongedde mu balunzi. Olunaku lweggulo omusawo wébisolo mu disitulikiti eno Dr Hillary Arinaitwe yaweze okudamu okutambuza ebisolo nokutunda enyama námata okutuusa nga embeera ezze munteeko. Wabula ssentebe wa basuubuzi be nyama ye nte mu disitulikiti eno…

Read More

Abatuula ebigezo bya LDC 90% bagudde

Bya Juliet Nalwooga Bannamateeka 90% abatuula ebigezo ku ttendekero lya Law Development Center (LDC) eby’omwaka 2019/20, baagudde. Okusinziira ku byava mu bigezo bino ebyafulumizddwa, omugatte bannamateeka 1,682 bebatuula wabula abasinga baakuddamu. Frank Othembi akulira ettendekero lino, erigaba satifikeeti ezikiriza abasomye amateeka okuwolererza abantu agambye nti kino kyava ku kirwadde ekya ssenyiga omukambwe. Ategezezza nti olwembeera eyomuggalo eyaliwo, tebasobola kuwa…

Read More

Dereva wa Gen Katumba Wamala agenda kuzikibwa olwaleero

Bya Gertrude Mutyaba Abadde dereva wa minisita, Gen Katumba Wamala Haruna Kayondo agenda kuzkibwa olunnaku olwaleero. Okusinziira kuboluganda, agenda kukibwa ku butaka, ku kyalo Lugando mu gombolola ye Bukango mu disitulikiti ye Bukomansimbi. Madinah Nakibuule, mwannyina w'omugenzi asigaddewo yekka, agambye nti basaba gavumenti ebakwasizeeko ku baana omugenzi balese. Yye Namwandu, Irene Achan yebazizza eggye lya UPDF ne General Katumba…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play