Bya Nalwooga Juliet,
Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga esabye Bannayuganda abakyawagamidde mu ggwanga lya United Arab Emirates (UAE) okwewandiisa okuzzibwa okwaboobwe nga nsalesale eyateekebwawo owa October 31 tannaggwaako.
Mu kwogerako ne banamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, Simon Mundeyi, omwogezi wa minisitule eno ategeezezza nti balowooza nti Bannayuganda nga 75,000 be babeera mu UAE mu bukyamu.
Agamba…
Bya Ruth Anderah,
Okuwulira omusango ogwaggurwa ku Dr Kiiza Besigye ne Lubega Mukaku ogwokukuma mu bantu omuliro olw’ebbeyi y’ebintu eyali yekanamye kutandise leero ku Court y’okuluguudo Buganda Mumaaso g’omulamuzi wa Kooti y’eddala erisoka Asuman Muhumuza.
Aduumira ebikwekweto bya Poliisi ku Central Police Station mu Kampala David Namanya yasoose okuwa obujulizi, bwategezezza Court nga Besigye ne Mukaku bwebakuma…
Bya Rita Kemigisa,
Ministry y’eby’obulamu etegeezezza nga omuwendo gw’abantu abakakasiddwa okubeera n’ekilwadde ki Ebola mu kibuga Kampala bwegweyongedde nga wetwogerera baweze 14 mu saawa 48 eziyise.
Minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Aceng ategeezezza nga bwekiddiridde abantu abalala mwenda okusangibwa nekilwadde kino ekya Ebola.
Aceng agamba nti bano baalina akakwate n’omuntu eyafa mu dwaliro e Mulago gyebuvuddeko eyava mu…
Bya Prossy Kisakye ne Mike Sebalu,
Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) basiimye omugenzi Jakana Nadduli, nga bamwogeddeko ng’omuvubuka abadde omugezi.
Jakana Nadduli mutabani w’eyali minisita atalina kifo, Hajji Abdu Nadduli, enkya ya leero aba famire ye bebalangiridde amawulire agokufakwe wabula n’okutuusa kati ekyamuviiriddeko okufa tekinategerekeka.
Bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku ofiisi…
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi mu bitundu by’ Entebe eriko abantu 3 bekutte nga bateberezebwa okuba nga babadde mu lukwe oluteekateeka okubbisa elyanyi nga bakozesa emmundu.
Ayogerera Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emililaano Patrick Onyango atubuulidde nti bafunye okumanyisibwa ku lukwe lukubbira ku mundu okuva eri omukuumi wa kampuni y’obwanannyini eya GKO security group ku kitebe ky’amazzi, nga…
Bya Felix Ayinebyoona
Ekitongole ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’ababundabunda nga kyegatidde wamu ne Gavumenti bisabye ekitongole ky’ensi yonna ekikola ku by’emmere ki WFP okuwa ababundabunda emmere yonna eyetaagisa mu banga ery’emyeezi omukaaga egigenda okuddilira.
Amyuka akulira enkambi y’ababunda bunda esangibwa e Rubondo mu Nakivale settlement camp Justine Gonza ategeezezza ab’amawulire nga abantu abali eyo mu…
Bya Dan Wandera
Ekitongole ekiramuzi kyolekedde okufulumya ebiragiro ebitongole ebikwata kukuwulira emisango mu disitulikiti ebbiri okuli Mubende ne Kasanda eziri ku muggalo gwa Ebola ogumaze ennaku 21.
Kino kikakasiddwa omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Jameson Karemani.
Embeera eyómuggalo ku disitulikiti ebbiri, yakukosa empulira ye misango egisoba mu 500 egibadde girina okukolwako mu budde buno.
Emisango egikoseddwa kuliko egy’obumenyi bw’amateeka, egyekuusa…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira abavuzi ba taxi ne bakondakita mu ggwanga lyonna ki Federation of Uganda Taxi Operators (FOUTO) olwaleero kitandise omulimu gw’okuwandiisa abaddukanya takisi bonna mu Uganda.
Bwabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza omulimo guno mu Kampala, ssentebe w’ekibiina kino, Rashid Ssekindi agambye nti mu kawefube ono abavuzi ba takisi bonna ne bakondakita bakuwandiisibbwa, nekigendererwa ekyókulongoosa…
Bya Abubaker Kirunda,
Poliisi mu ggombolola y’e Namutumba ekutte omukulu wessomero ku bigambibwa nti yabulankanya ssente z’ebigezo by’abayizi basiniya eyokuna ne basubwa okukola ebigezo ebyakamalirizo ebyatandise ku ntandikwa ya wiiki eno.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga east Diana Nandawula agamba nti omukwate abadde akulira essomero lya Bugobi modern senior secondary school mugomolola ye Bulange.
agamba nti essomero lino…
Bya Gertrude Mutyaba,
Nnamutikwa wenkuba eyafudemye akawungeezi ayise mu disitulikiti eye Bukomansimbi yasanyizaawo ebirime by’abatuuze mu gombolola ye Kitanda ku byalo okuli Mirembe ne Busaabala.
Abatuuze bagamba nti ensimbi baazeewola mu banka nga baalina essuubi okukungula.
Bano bagamba nti ekyeya kyabakuba nnyo nga baalina essubi enkuba keyajja, bajja kulima bedaabulule.
Ebirime ebyayononeddwa mulimu kasooli, muwogo, ebitooke, ebijanjaalo, lumonde, vanilla…
