Skip to content Skip to footer

Ebibiina by’emizannyo biwereddwa

FUFA new logo

Akakiiko akatwala eby’emizannyo mu ggwanga kasattuludde ebibiina ebiddukanya emizannyo egitali gimu mu ggwanga.

Ebibiina bino birangibwa butagoberera mateeka agaleetebwa akakiiko k’emizannyo omwaka oguwedde.

Mu biwereddwa mwemuli aba FUFA ate ng’abawonye kuliko ekikola ku kuwuga n’ekikola ku mizannyo gy’ensamba ggere

Ebibiina bibiri byokka okuli eky’okuwuga n’ensambaggere byebikkiriziddwa okukola kubanga bbyo bigoberedde amateeka.

Ssabawandiisi w’akakiiko kano Jasper Aligaweesa agamba nti kino bakikoze nga besigama ku kuwabulwa okuva eri gavumenti.

Leave a comment

0.0/5