Bya Shamim Nateebwa.
Ministry ekola ku nsonga z’ebyobulamu erabudde abantu abaakasimatuka ekirwadde kye Ebola naddala abasajja okugira nga besonyiwa ebyokwegatta, kubanga bandyongera amanyi g’akawuka kano okusasaana.
Bwabadde ayogerera mu musomo gw’abanamawulire ku bikwatagana ne Ebola , akwanaganya eby’okulwanyisa Ebola mu ministry eno Dr Mariam Nanyunja agambye nti akawuka kano kasobola okwekweka mu nkwaso z’omusajja, okumala akabanga kale nga singa akeera okuddamu okwegatta akawukakano kandikwata omuntu gweyegase naye.
Ono agambye nti okuva ekirwadde kino bwekyabalukawo mu DR congo nga 1st August okutuuka nga 15th December abanti 313 bebaafa