Skip to content Skip to footer

Abasawo b’ekikulukuto batono

Fisitula case

Omuwendo gw’abakyala abalina ekikulukuto gweyongera buli lukya nga buli lunaku wabaawo omuntu omupya afuna ekirwadde kino

Atwala ekiwayi ekikola ku bulwadde bw’ekikulukuto, Dr  Benard Opar kino akitadde ku basawo abamanyi ekirwadde kino abatono nga kizibu abalwadde bonna okukolebwaako

Opra agambye nti eggwanga lyonna lirina abalongoosa obulwadde buno 20 nga bakolaku balwadde 1000 bokka

Ono ayagala kati wabeewo okutendeka abasawo abalala okusobola okufuna abasawo abajjanjaba ekikulukutu.

Leave a comment

0.0/5