Akulira eddwaliro ly’abalwadde b’emitwe erye Butabika Dr David Basangwa alaajanidde gavumenti etendekewo abasawo b’emitwe abalala olw’abantu abeyongera okutabuka emitwe sso nga abasawo batono ddala..
Eddwaliro lino lirina abasawo 10 bokka nga ate 4 bali ku misomo sso nga abalwadde basoba mu 700.
Basangwa y’abyogedde aweebwa ebikozesebwa by’eddwaliro lino ebibalirirwamu obukadde nga 5.