Okunonyereza okukoleddwa kwolese nti akawuka ka mukenenya bwekabaako eddagala kalina engeri gyekanafunawa ekivaako abantu okulowooza nti baba bawonye naye nga ssi bweguba
Kino kiddiridde omwana eyalangirirwa okubeera nti awonye siriimu ate okuddamu okumukebera nebasanga akawuka mu musaayi
Abanonyereza ku mukenenya bagamba nti kino kirumya omutwe era kibazzaayo emabega ate okuddamu obuto okunonyereza okuzuula kino kiva
Ekizibu kino kisinga kuva ku nsonga nti akawuka kano katambula okutuuka ku bwongo ate ng’eno kizibu okuvaayo
