Abasawo b’amannyo bagamba nti abaddusi b’emisinde abakuuma amannyo gaabwe nga malamu bulungi bongera emikisa gyaabwe egy’okuwangula empaka zebetabamu
Mu Lukiiko lwa bannabyamizannyo olw’ebyobulamu olwabaddewo mu kibuga Londo, abasawo bagambte nti amaanyo amalamu gakola kyamaanyi ku bulamu bwa bannabyamizannyo naddala abaddusi
Abasawo bano bagambye nti ebbanga wakati w’okuwangula n’okuwangulwa ttono nnyo nga buli kantu akayamba bannabyamizannyo bandibadde bakassaako essira