Abalwadde abagenda mu ddwaliro lye Naguru batubidde olw’abasawo abakyagenda mu maaso n’akeddimo kaabwe.
Bangi balabiddwako mu nkuubo era ng’abamu batedewaliddwa kati basasulw aokukolwaako yadde ng’eddwaliro lino lyabwereere
Abasawo mu ddwaliro lino basazeewo owkediima nga bagamba nti bamaze emyezi 3 nga tebasasulwa
Wabula akulira eddwaliro lino, Dr Edward Ddumba agamba nti ebizibu mu ddwaliro lino zisinga ku musaala
Ono agamba nti obubbi obuli mu ddwaliro lino buyuitiridde obungi ng’abasawo batuuka n’okubba ebikookooma ebizungu ziyite toilet paper.
Kyokka ku ky’omusaala Dr Ddumba agamba nti balian essuubi nti buli kimu kijja kugga nga ministry y’ebyensimbi yababakasizza ng’ensimbi zino bwezamaze okuyimbulwa