Ebibiina by’obwannakyeewa byagaala gavumenti ensimbi z’ennajja mu mafuta zissibwe mu byobulamu
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byobulamu , omukungu okuva mu kibiina kya bannakyeewa ekikola ku by’embalirira, David Walakira agambye nti eby’obulamu biri mu nyanga era nga byetaaga okutereeza okulaba nti abantu bongera okuwewulwaako.
Yye atwala ekibiina kya White Ribbon Alliance Robinah Biteyi ategeezezza nti ensimbi ezissibwa mu by’obujjanjabi ebisookerwa ntono nnyo.
Biteyi agamba nti obuwumbi 15 zokka zeezissibwa mu bujjanjabi bw’ekika kino ate nga buli omu abwetaaga
Biteyi kyokka agamba nti kino kirina kutambulira wamu n’emisaala gy’abakozi, eddagala mu malwaliro n’okusakirira amalwaliro ga wansi.
