Okunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya SierraLeone kulaga nti ezimu ku nsimbi ezaali ez’okulwanyisa obulwadde bwa Ebola abakulu bazibwebwena
Okunonyereza kulaze nti ensimbi ezisoba mu bukadde bwa dollar 3 n’ekitundu zeezasanyizibwa ng’ate tezirina mbalirira.
Abantu abasoba mu mitwalo 23, beebakafa obulwadde bwa ebola mu mawanga ga West Africa omuli Sierra Leone, Liberia ne Guinea.
