Obukiiko bw’ebyaalo obukola ku byobulamu busabiddwa okukolagana n’abasawo kko n’abakulembeze abalala okusomesa abakyala abalina akawuka ka Mukenenya ku ngeri y’okuzaalamu abalamu.
Mu ngeri yeemu era bano basabiddwa okusomesa abakyala ku ndwadde z’ekikaba
Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kya Mayanja memorial foundation ekiri e Ibanda Juliet Kyomuhendo y’akoze okusaba kuno bw’abadde aggulawo eddwaliro lye Bufunda health center three.
Kyomuhendo asabye n’abasajja bulijjo okuwerekera bakyala baabwe nga bagenda okunywa eddagala basobole okwekebeza bonna.
Kyomuhendo era asabye n’abakyala abali embuto bulijjo okusula mu butimba bw’ensiri okwewala okufuna omusujja oguyinza okubajjamu embuto.