Olunaku lwaleero lwa musujja gwansiri
Olunaku luno lwassibwaawo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte okujjukiza abantu nti omusujja guno gwamaanyi era buli omu asaanye okukwatira waali okulwanyisa obulwadde buno
Mu nsi yonna abantu obuwumbi busatu beebali mu bulabe bw’okufuna omusujja gw’ensiri ate nga bbo abaweza akakadde beebafa omusujja guno buli mwaka
Buli sekonda 30 lweziyitawo, wabaawo omwana afa omusujja gw’ensiri mu nsi yonna
Okuddako ku ssemazinga wa Africa,abantu abaafa omusujja gw’ensiri abaweza ebitundu 90 ku kikumi bava mu mawanga agali wansi w’eddungu Sahara nga muno mw’otwalira ne Uganda
Omusujja guno nno gusinga kutta baana n’abakyala abali embuto.