Skip to content Skip to footer

Emwanyi ya Uganda yakutwalibwa mu China ne Russia.

Bya Ritah Kemigisa.

Mukaweefube ow’okwongera kubungi bw’emwanyi ezitundibwa e bunayira ekitongole ekikola ku by’emwanyi kitegeezesa nga bwekigenda okusagula obutale obulala  mu mawanga aga Maghreb , nga kuno kwekuli China, North Korea and Russia n’amalala.

Twogedeko n’akulira ekitongole kino Emmanuel Lyamulemye n’agamba nti situgaanye  emwanyi ya uganda yankizo nyo mu katale k’ensi yonna, naye ate mumawanga agamu tenatuuka, kale nga okusaggula obutale okwamaanyi kwetaga okukolebwa mu buli kasonda ka gwanga.

Kinajukirwa nti mu kaseera kano egwanga lya Sudan lyelikyakize  okusuubula emwanyi ya uganda, newankubadde n’amawanga g’abazungu nago gatwalako.

Leave a comment

0.0/5