Skip to content Skip to footer

Abadde asaba obufumbo bimusobedde

wedding-fail

Abasajja abamanyi omukwano bakyaaliyo ku nsi.

Omusajja mu Dubai atutte muganzi  we okugula ku bikozesebwa ewaka kyokka nga bw’atuuse mu nda n’abaka akazindaalo n’atandika okumuyimbira omuyimba bw’omukwano n’okumusuula obugambo obuwooma okukira omubisi

Nga bw’akolerako ebikolwa era ng’abantu bamaze okukungaana, omusajja ono asse ku maviivi ge n’asaba muganzi we akkirize okumufumbirwa

Wabula omusajja ono akazannyo kano kamubijjiridde muganzi we mu butanwa bw’amukubye akazindaalo n’agwa eri era elibadde essanyu abantu batandise okumukoonakoonako okulaba oba mulamu.

Omusajja ono amaze n’adda engulu, muganzi we n’akkiririzaawo okumufumbirwa

 

Leave a comment

0.0/5