Nga eggwanga lirindirira okulangirirwa kwabaminisita abanabeera mu gavumenti, ababaka abakyala mu palamenti y’eggwanga batukizza eky’okuweebwa ebifo 40%.
Mu kuggulawo olukungaana lw’abakyala olw’ennaku 2, ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka ba palamenti abakyala Betty Amongi ategezezza nga abakyala ensonga zabwe bwezitakoleddwako nga bwezisanidde lwakubulawo kwa ddoboozi ly’amwanguka.
Agamba amateeka agakwata ku bakyala okuyisibwa kisaana nga balina abakyala abali mu buyinza…
