File Photo: Joseph Mabirizi nga jeeyo foomu
Poliisi etandise okunonyereza ku bigambibwa nti omu ku besimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga yawambiddwa ekiro kyajjo.
Kiddiridde omukulu ono Joseph Mabirizi okusazaamu kampeyini ze ng’agamba nti yawambiddwa abantu abatannaba kutegerekeka
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ebigambo bino tebasobola kubitwala nga byalusaago.
Wabula Enanga agamba nti ssinga bakizuula nti ono yabadde alimba,…