File Photo: Mukulu ngali ku npingu
KKooti mu ggwanga lya Tanzania eragidde nti aduumira abayekeera ba ADF Jamil Mukulu akomezebweeyo mu Uganda avunaanibwe emisango gy’ettemu.
Omulamuzi wa kkooti ento mu kibuga Kisitu Cyprian Mkeha agambye nti Mukulu alina kuggulwaako misango gya ttemu sso ssi gyabyabufuzi.
Omulamuzi agambye nti akakasizza nti emisango egivunaanibwa Mukulu gya ttemy…
