File Photo: Ababaka ba palamenti
Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa awakanyizza ebigambibwa nti ensangi zino palamenti yegumbulidde omuze ogw’okuyisa amateeka ng’ababaka tebawera .
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Nankabirwa agambye nti palamenti eyogerwako y’eyisa amateeka omuli n’agagifuga , kale nga ate teyinza kukulemberemu muze gwakugamenya.
Nankabirwa agamba nti abantu basaana baawule wakati w’okuteesa n’okulonda,kubanga ebiseera ebisinga ababaka babeera batono…
