Minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga alabudde abantu bonna okwewala effujjo nga twetegekera okulonda kwa 2016.
General Aronda Nyakayirima okulabula kuno akuwadde atongoza okugaba endaga Muntu mu disitulikiti ye Masaka.
Gen. Nyakayirima agamba nga okulonda kubulako emyezi mibale okutuuka, ebitongole ebikuuma ddembe biri bulindaala okwanganga omukozi w’effujjo yenna.
Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba nga y’akiikiridde omugenyi omukulu omumyumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward…