File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Luweero ekutte abantu babiri oluvanyuma lw’omusenze okutabukira nyini ttaka n’amutema amajambiya n’amutta lwa nsonga za ttaka.
Ayogerera poliisi mu kitundu kino Lamecka Kigozi atubuulidde nti omugenzi ategerekese nga Moses Kakooza nga ye nanyini ttaka attiddwa omusenze Moses Sebunya.
Kigozi agamba nti enjega okubaawo kiddiridde ssentebe w’ekitundu kino okuyita bano bakkaanye,…
