File Photo: Abantu nga bali ku lyato
Abantu babiri kikakasiddwa nti bafudde ate abalala musanvu tebamanyiddwaako mayitire oluvanyuma lw’eryaato mwebabadde batambulira okubbira.
Akabenje kano kabaddi wakati w’omwalo gwe Dolwe ne Sagit ng’eryaato eribaddeko abantu 23 likoonye olwaazi neribbira.
Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa Busoga Ashiraf Chemonges agambye nti abantu bano babadde bava Masese e Jinja nga badda dolwe…
