Omu ku bagambibwa okutega bbomu ezatta abantu abasoba mu 70 akubye omulanga mu kkooti ng’anyonyola okutulugunya okwamutusibwaako.
Hassan Haruna Luyima agambye nti bamutulugunya nebatuuka n’okumuliisa embizzi nga bagaala akkirize nti yeeyatega bbomu ze Kabalagala.
Omusajja ono agambye nti batuuka n’okumwambula nga bamukanga okulya embisiyaga kyokka nga yyo embizzi bagimuliisa ku mpaka.
Luyima abadde yenyonyolako ku sitatimenti gyeyakola ng’akkiriza…