Ab’ebibiina byobwanakyewa basanyukidde ekya pulezidenti Museveni okugaana okussa omukono ku tteeka erijja ababaka ba palamenti mwabo abalina okusasula emisolo ku nsako yaabwe.
Pulezidenti Museveni bano yabaddizza ebbago lino baddembe okulyekenenya bave ku by’okwejja mu balina okusasula omusolo.
Omukwanaganya w’ekibiina ekikola ku byambalirira ekya CSBAG Julius Mukunda agamba buno buwanguzi bwamanyi era palamenti erina okugoberera amateeka.