Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kizza Besigye asekeredde gavumenti ku ky’okukozesa eryanyi okugumbulula obwegugundo bw’aboludda oluvuganya gavumenti.
Mu lukungaana lw’akubye e Iganga , Besigye ategezezza nga n’ebyokulwanyisa eby’amagye bwebitasobola kulwanyisa nkyukakyuka.
Besigye era ateeredde pulezidenti Museveni Akaka nga bw’ali omutitiizi ayiwa amagye ne poliisi okwagale okukanga bannayuganda abaagala enkyukakyuka.
Agenze mu maaso…