Poliisi y’ebidduka wano mu kampala n’emiriraano yakayoola pikipiki za bodaboda ezisoba mu 5000 lwakumenya mateeka gakunguudo.
File Photo: Abavuuzi ba Boda boda
Aduumira poliisi y’ebiduka mu Kampala n’emiriraano Norman Musinga agamba basinze kukwata boda z’abo abatalina pamiti, abatikka omusaabaze asukka mwomu abavuga obubi n’ebisobyo ebirala.
Musinga agamba bino temuli byabufuzi baagala kutereeza byantambula mu Kampala.