File Photo: Bosco Ntaganda ngali nabasajja be
Eyali omuyekera mu ggwanga lya Congo Bosco Ntaganda wakusimbibwa mu maaso ga kkooti y’ensi yonna ku misango gy’entalo.
Ku gimu ku misango gino kuliko egy’obutemu, okutwala abaana abato mu magye, okusobya ku bakyala n’emirala wabula nga ye bino byonna abyegaana.
Abantu abasoba mu 2000 abatusibwako ebikolobera bakkiriziddwa okugenda mu kkooti eno…
