File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu
Ssenkaggale w’ekibiina kya Peoples’ Progressive Party Dr. Abed Bwanika alumirizza gavumenti ya NRM okukuumira abantu be Luweero mu bwavu obutagambika nga babasuubiza ebyoya bw’enswa mu myaka 3o gyebakamala mu buyinza.
Bwanika bino yabyogeredde mu nkungaana zeyakubye e Nakaseke ne Luwero n’ategeeza nti kyekiseera bannaluweero okukyusa mu gavumenti okusobola okufuna…
