Eyali minisita w’ebyenguudo Eng Abraham Byandala kitegerekese nga bw’ayagala bw’alina ekigendererwa ky’okukiriza omusango ogwekuusa ku kubulankana kw’obuwumbi 24 mu kuzimba oluguudo lwe Nyanga Katosi e Mukono.
Munnamateeka wa Byandala Nsubuga Mubiru y’ategezezza omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi Lawrence Gidudu ku nteekateeka eno.
Wabula enteeseganya wakati wa Kaliisoliiso wa gavumenti n’omuvunaanwa omulala Joe Ssemugooma eyali akulira eby’ensimbi tezinavaamu…
