Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumanti ogwa Democratic Alliance gukkiriziganyizza ku ngeri gyebagenda okulonda agenda okubakwatira bendera mu kalulu ka 2016.
Ssentebe w’omukago guno Prof Fredrick Ssempebwa agamba essaawa yonna abakulembera omukago guno bakutegeeza ebibiina ne bannayuganda ku kyebasazewo.
Ssempebwa agamba enteekateeka eno yakuteekawo obwasseruganda mu bibiina ebivuganya gavumenti nga okulonda kukubye kkoodi.