File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Norbert Mao asudde omubaka Sebuliba Muddu Awulira ku bwa nampala w’ekibiina n’amusikiza mubaka munne akiikirira ab’e Kalungu Joseph Ssewungu.
Mao ategezezza nga ekisanja kya Ssebuliba byekyaggwako kale nga kyekiseera okumisikiza omuntu omulala.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ku City House, Mao era ategezezza nga…