Okuwulira emisango egivunaanibwa abagambibwa okutega bbomu mu mwaka 2010 kugudde butaka nga kwakuddamu olunaku lw’enkya
Kiddiridde ab’oludda oluwaabi okulemererwa okuleeta omujulizi gwebabadde basuubira
Munnamateeka wa gavumenti omukulu Susan Okalany ategeezezza omulamuzi agubadde mu mitambo Alfonse Owiny Dollo nti omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Buganda road Francis Kobusheshe abadde n’ebizibu n’atasobola kulabikako mu kkooti.
Omulamuzi ono yeeyaliwo ng’omu…
