File Photo: Muna Nrm nga londa
Akakiiko k’ebyokulonda katangazizza ku Muntu by’alina okubeera nabyo nga agenda okulonda.
Kino kiddiridde abantu abenjawulo okwemulugunya ku kiki kyebalina okulagayo nga bagenda okusuula akalulu kaabwe.
Kati amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya agamba ekisinga obukulu ku lunaku lw’okulonda ye ndagamuntu.
Wabula asambazze ebigambibwa nti atalina kapapula kalaga w’alina okulondera ssiwakukkirizibwa kulonda.
